There are times I envy you.
You rest so peacefully.
You don’t wear a smile anymore
But that’s only because
Your joy is now complete
There are days I wish I were you
Well, were where you are
The text paints a picture of peace, and
Experience sneaks me in for a glimpse
I ache from the disconnect
Tumwe, mwana, simanyi
Ebya wano bikooya
Obukoowu buntuuse mu magumba
Obunafu gwe musaayi gwange
Nalabye omuzira mummy e’jjo
Nze n’agogera nga sigalina
Naye yanyanirizza nnyo
Yanfumise n’essanyu. Mugumu.
Kyoka nga nze, empewo nga yendagirira
Tumwe, mwana, sikyamanyi
Omugezi wange, Nev, binsobedde
Kale manyi nti amaanyi si gange
Naye neetamye, nze nga nze
Ela wano wendi, mpulira nzigwedemu
Wakyiri singa mbade mwesiga
Okusinga ko wano wendi
Mwana omuntu atalabika-labika
Muzibu wa kukilirizaamu
Omugezi wange, Nev, binsobedde
Eyatonda byona n’agamba nti
Ekisa kyange kikumala,
Era obusobozi bw’amaanyi gange
Osinga bulaba mu bunafu bwo
Tolimbye, nanyini nsi,
Nze nsaba busabi butandeka,
‘Kuba, guno omulimu gwewampadde
Sigusobola nga toliiwo awo nange
Ntaasa, nanyini bulamu
Ntaasa, mukama wa byona
Ntaasa, nze ekisooto obusooto
Kyewawa omukka, n’omwana wo
Kyewanunula mu bulamu namaddala
Ntaasa, gwe mubuumbi wange
Eyasoka wo, ali ne kaakano, era alibeera wo
Lubeerera na Lubeerera,
Taata.
Nyweza.
Leave a Reply